
POLIISI ye Ntebe ekutte negalira abafumbo babiri oluvanyuma lw’okulwanagana okukakana nga omwami atugumbudde omwana wa myezi 5 nga bino bibadewo ekiro nga bukya oluvanyuma lw’okufuna obutakanya ate nga kigambibwa omwami akomyeewo nga atamidde .
Senabulya Andrew aged 38yrs kigambibwa yalwanaganye ne mukyaala we atayatudwa manya okukakana nga omusajja ono atuze omwana amanyibwa nga Nakintu Rihanah omuwala wa myezi 05 naafa era kigambibwa nti omwana ono asangibwa nga aliko enkwagulo mubulag eziraga niti atugibwa okutuuse bwafudde .
Bino bibadde Kasenyi ku kyaalo Nkumba Bendegere mu Katabi Town kanso era oluvanyuma abatuuze bayise poliisi netwala omulambo mudwaliro lye KCCA okwekebejebwa .
Abatuuze nga bakulemdwamu Kansala John Muhire bagambye nti kino ekikolwa kikyamu nnyo abafumbo okutuuka okulwana nebatwaliramu obulamu bw’omwana atalina musango ekintu kyagambye nti kikyamu nnyo .

File photo
Ono agenze mumaaso nagamba nti yafunye esimu kumakya nga bamugamb waliwo abatuuze abalwanye taata natgumbula omwana ekintu kyagamye nti kikyamu nasaba abafub bona okutula ewaka bakanye enonga zigwe nga tewal kulumya muntu nadala abaana .
Elnest Tumwikirize omutuuze kumwaalo gwe Kasenyi agambe nti omuyaala alina mukyaala mune gyeyalaze nga omugamba obuzibu bwebafunye ne mwami ne era nebamulagira agende ku poliisi nga bukyaali kyoka nga eyatuuse nabugamba nti alindeko nebamufunire awokwebaka okutuusa kumakya owlo nalweka adayo ewakka kyoka yagene okutuuka nga omwana taata we yamutuze naafa era kino ono akivumirdde nnyo .
Amyuuka omwogezi wa poliisi mu kampala nemirirwano Luke Owoyesigire akakasiza nti kituufu omwana oyo yatugumbudwa oluvanyuma lwa bazadde bombi okulwanagana era nti omulambo gwatwalibwa mu dwaliro lya KCCA okusobola okwekebejjebwa .
End………………





