Bano okuli Nabata Joyce Namuli okuva mu NUP , Shyaka Stephen Gashaija okuva mu NRM , Kayinja Vicent okuva mu Dp nabalala oluvanyuma lw’okusunsulwa bayisibwa ebivulu okwetoloola ekibiga kye Ntebe nga basaba abatuuuze okubalonda basobole okusigukululayo omubaka we Ntebe aliko Micheal Kakembo nga ono yesimbyewo ku kibiina kya Democratic Front oluvanyuma lw’okuva mu bibiina kya NUP .
Micheal Kakembo nga ono yesimbyewo ku kibiina kta Democratic Front era nga ye mubaka we Ntebe aliko agambye nti musanyufu nnyo okuba nga abalonzi be Ntebe bamuwa omukisa okubakikirira mu lukiiko lwe gwanga olukulu naye nabasaba okudamu okumwesiga ademu okuba kikirira kubanga alina byatanamaliriza ate nti abadde yakakolayo ekisanja kimu nolwekyo abadde akyayiga naye kati ekyokukola akimanyi bulungi .

Ono ategezeeza nti asobode okuyamba Ntebe okwongezebwa ku sente eziwerezebwa okuva ku buwumbi 20 buli mwaka naye kati efuna obuwumbi obususoba mu 50 kyagamba nti kitegeeza akoze era nti asobode okudiza abatuuze be Ntebe mga abagulira emotooka etambuza abantu , emotooka etambuza ebintu , nabagulira emwanyi , okuwerela abaana abasoba mu 80 mu Mbwatekamwa Foundation nebintu ebirala bingi .
Kakembo asuubiza okuyamba okuzimba olutindo olugata Ntebe ku Buwaya era nti ensonga eno yatuuka dda mu palamenti era nti ayagala okukakasa nti Ntebe efuuka ekibuga ekintu kyasobola okukola singa adayo okubakikirira okutandiika omwaka omugya .
Joyce Nabatta Namuli okuva mu NUP agambye nti oluvanyuma lwokwewandiisa yebaziiza nnyo abamuwerekedeko okusobola okwewandiisa nakomawo naye nti asanze okusomoozebwa olwa poliici okubatawanya nga babalemesa okuyisa ebivulu byabwe kyoka nga basaba olukusa wadde bagana okubawa ekisawe kya Lubigi naye nebabakiriza okusasula ekisawe kya Banga naye nebabasasuza emitwalo 40 kyoka nga bamanyi balina kusasula emitwalo 10 ekintu kyagambye nti kikyamu .

Ono asuubiza abalonzi nti ayagala okukwata kunsonga zabasomesa zikwatibwaako kubanga kikyamu abasomesa aba science okufuna sente enyingi okusinga aba Arts kyagamba nti kikyamu era nenguudo ayagala zikwatibweeko .
Steven Shayka Gashaija yeebaziza abatuuze be Ntebe okumuwagira naye nasaba abakulembeze abalina Card okuwereza abantu obulungi awatali kusosola mu bibiina naye nasaba okulonda omukulembeze we Gwanga Yoweri Museveni wamu nabakutte card ze kibiina Kya NRM .

Ono yeyamye okulondoola ensonga za batuuze be Ntebe okuviira ddala kubavubuka basobole okuba nobulamu obulungi okuli nokubayamba okufuna emirimu nokufuba okulaba nga baganyurwa mu gavumenti .
End……….

