
ABAKULIRA eddwaliro elijjanjaba abaliko obulemu kumagulu nemikono elimanyibwa nga CORSU elisangibwa e Katabi Kisubi ku Luguudo lwe Ntebe nga lino lisinga kukola kunsonga zabaana abato batandiise kaweefube wokukolera abantu abalina obweetavu bw’amagulu amazungu era nga enteekateeka eno eyanjudwa abakulira edwaliro lino nga bakulembedwamu Robert Ochai alikulira .

Robert Ochai akulira edwaliro lino agambye nti musanyufu nyo olw’enteekateeka eno nagamba nti nungi nnyo kubanga egenda kwongera okwanguya emirimu nadala nga bakola kubanga bangi olw’ensonga nti tekinologiya ono amanyibwa nga 3D ayambako okukola amagulu gano budde butono nnyo wakiti we sawa 3-8 nga bulijjo batwaala wakati we naku 3-14 ekireetera abantu okulwaawo okufuna amagulu gano .
Gloria Nekesi okuva mu Corsu agambye nti batandiisewo tekinologiya asobola okuyamba okukola amagulu gabantu abatalina magulu nga bakozese ebyuuma kalimagezi , ono okwogera bino abadde ku dwaliro lino elisangibwa e Kisubi kuluguudo lwe Ntebe nga batongoza tekinlogiya ono .
Ono agambye nti basobola okukola magulu gano kulunaku lumu okusinziira kunkola enkadde eyali etwaala ebanga ddene okumaliriza omulumu guno ekintu ekirungi era nti kino kitegeeza nti basobola okukola kubanga bangi okusinga emabega nga tebanaleeta tekinologiya ono .
Assembyeyo nga agamba nti bakola ku bantu 100 buli week abalina obulemu ekintu kyagamba nti kyaali tekisoboka , wano wasinzide nasaba abazadde okuyamba abaana okufuna amagulu gano basobole okubaako kyebayinza okwekolera nadala singa bakula
Dorothy Mutabaazi agambye nti bakwataganye ne kitongole kya CBM okusobola okuleeta enteekateeka eno kiyambe okuwa abaana abato omukisa okutambula era ono asabye abazadde okwewala okukweeka abaana bano wabula bafune omukisa okuzanya nebanabwe , ono agambye nti abaana bangi bakwekebwa mumayumba olw’okuba nobulemu ekintu kyagamba nti kikyamu nnyo .
Nakabuye Edwin ategezeeza nti yazalibwa nga alina obulemu bw’okwavula naye oluvanyuma CBM yamuyamba okusalako amagulu oluvanyuma nebamuwa amagulu gano amazungu ekintu kyagamba nti kirungi kubanga kimuyambye okuba nga yekolera emirimu gye kwosa nabantu obutamuyisamu maaso nadala nga agenze okusaba emirimu .
Ayongeddeko nti yaweebwa emyeziesatu okuwona era nga mukiseera kino asobola okutambula obulungi kyoka nga emebega yali ayavula bwavuzi okubaako nekyeyetuusako mubulamu awatali kuyisibwaamu maaso .

Dr Upenytho George Dugum Commissioner health Services (MOH) abadde omugenyi omukulu agambye nti kyetaagisa gavumenti okwongera amanyi mukuyiiya nadala munteekateeka ya tekinologiya nga bakola ebintu ebiyamba ennyo abantu nadala abaliko obulemu .
Ono agambye nti ebintu bingi biyinza okukolebwa okuyamba abaliko obulemu kumubiri nekumaaso basobole nabo okuba nobulamu obulungi .
Wano assembyeyo nga agamba nti gavumenti yakwongera okukwatirako CORSU okutumbula enteekateeka eno mugwanga .
End……..