
BANNAUGANDA batandiise okuganyulwa munteekateeka ya gavumenti okugabira abantu ebyapa emanyibwa nga Systematic Land Adjudicarion and Certification (SLAAC) era nga ebyapa emitwalo assatu mu mwenda mu lukumi (391000) byakugabwa nga omwaka guno tegunagwako , bino byogedwa Minister we byetakka , amayumba nokuteekatekere ebibuga Hon Judith Nabakooba e Ntebe ku kitongole kya ekikuba ebyapa .
Bino bibadde ku Data processing Centre, survey and Mapping Department mu entebbe mu wakiso ku mukolo kwakwasiriza abantu ebyapa emitwalo enna mwenkumi nnya mubina mu abbiri mubitaano (44,425) mu disitrikiti 13 mu Ministry zonal offices okuli Soroti, Jinja , Mbarara, Lira , Masindi wamu ne Arua.

Nabakooba ategezeeza gavumenti nsanyufu olw’enkola eno kubanga ettadde akasseko ku bantu baayo era nelwanyisa nnyo enkayaana wamu no’bubi bwe ttaka obufuuse baana baliwo ensangi zinov
Ayongedde nategeeza nti disiturikiti ezigannyuddwa mu nkola enno ziri kumi nassatu 13 okuli Bukedea nebyaapa 2787, Serere 1519, Soroti 1279, Kamuli 7458, Luuka 642, Jinja 494, Mayuge 3260, Isingiro 2978, Ntungamo 3618, Sheema 2733, Kikuube 8728, Maracha 4313 ne Oyam nebyapa 4616 era basazeewo batandike nezino kubanga zezirina ettaka eritakubwangako kyapa kyona kiyite “customary land” era nga basubira ndi eddimu lino lyakumalirizibwa nga omwezi gw’omwenda tegunagwaako.
Systematic Land Adjudication nteekateeka ya gavumenti okulaba nga teri takka lisigala nga teripuntidwa, okuwandisibwa oba okubibwa mu kyapa nga manifesto bwegamba.
Minisita asabye abakulira office za minisitule mu zoni ezenjawulo okugoberera ekulungamizibwa okwakolebwa minisitule nga bakwaasa bananyini be byaapa bino nga wano asabye ba CAO ne ba RDCs okusitukiramu okulaba nga bana Uganda bafuna ebyapa byaabwe mubunambiro.
End…………..