
LUWEMBA
Bya OUR Reporter
BANAN UGANDA begase kunsi yonna okujjaguza olunaku lw’ebisodde (Gorillas ) era nga ebijjaguzo ebikulu bibadde Ruhija mu disitulikiti y’eKanungu awasangibwa ekuumiro lye bisolo by’omunsiko erimanyiddwa nga Bwindi impenetrable national Park.

Abatuuze okuva mu bitundu ebiriraanye ekkuumiro lino nga beegattira mu kibiina kyabwe ekimanyiddwa nga Change A Life- Bwindi.era Christina Katushabe ku lw’abatuuze, yategezezza nti okujaguza kw’omwaka guno kutambulidde ku mulamwa ogw’okukuuma obutonde bw’ensi naddala okumalawo okusaasanya ebintu bya ebisanuuka (plastic) okuliraana ekkuumiro lino.
Bano nga akabonero kukujjaguza nokukuuma obutonde baasoose na kuyonja bitundu mwebawangaalira. Nga bakwasaganyizibwako ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma ebisolo by’omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority (UWA), balambudde ebimu ku bisodde ebisangibwa mu kkuumiro lino.

Dr. James Musinguzi akulira UWA ategezeeza nti luno olunaku lukulu olulina okujjaguzibwa kubanga kiyamba okujjukira ebirina okukolebwa okulaba nga bakuuma ebifo ebisodde bino webisula okuli ebibira era n’akubiriza abantu osimba ebibira kubanga ebisolo bino bireeta ensimbi nyingi okuva mubalambuzi nga ebitundu 70 ku sente zebyobulambuzi biva mu bisodde.
Asembyeyo ng’akubira gavumenti omulanga okukola enguudo okuli ezitwala abalambuzi mu makuumiro g’ebisodde okuli Bwindi ne Mgahinga kwosa nenguudo endala kubanga singa zikolebwa kyakuyamba okuleeta ensimbi nyingi okusinga ozireetebwa kati .
Uganda elina ebisodde ebisoba mu 500 okuva mumakuumiro egenjawuulo okuli Bwindi wamu ne Mgahinga Gorilla National Park era nga bino ebifo byetanirwa nnyo abalambuzi okuva emitala wamayanja , bano baleeta ensimbi mu gwanga ate nga mungeri yomu abatuuze mubifo bino bafuna omukisa okwenogera kunsimbi nga bafuna buebaguza abalambuzi ekibayamba okwebezaawo mubulamu obwa bulijjo .

Akulira Uganda Tourism Board (UTB) Juliana Kagwa agambye nti olunaku luno lukulu nnyo kubanga Uganda y’esinga okubeera n’obungi bw’ebisodde mu nsi yonna. Ono ayongeddeko nti ekitongole ky’akulira ekya UTB, kigenda kwongera okusikiriza abalambuzi okwettanira okujja mu Uganda balambule ebisodde n’ensolo endala ez’omunsiko.